text
stringlengths 0
2.73k
|
---|
eyo ssekkokko erabika ebiika mu nsiko wano tulaba bwana |
ezo enju zoolaba edda zaabaanga sitoowa za ppamba |
ezo nno embuzi olowooza zirya ebiwata b'azimanyiiza bisagazi byokka |
genda okebere ku kikolo ky'omumwaanyi weendese akasawo kaange |
gwe ateewulira bulungi bwoyenga ku lweza n'omwetango neweeyirako |
gwe olowooza anaakuteerako emmere nga tomugambye |
gwen no nnakyala ataseguka osuubira ani agenda okukugololerako |
gwenno weefuule nnampulirazzibi togambanga nti ssakulabula |
kale ssebo kankulinde omulundi omulala naye bwolabanga nzizeemu okukuterayo kabega nga ndi mubuya |
kale vaawo ani yakugamba okulangira banno obugumba nga naawe oli mukazi |
kasooli wo yenna aleese oluyaange |
leero gwe atalina lugoye lutukula ogenda kwambala ki |
leero luno kinaabula omukombi anti abawanguzi baffe lwe batuuka |
lekeraawo okusosonkereza banno lwe balikwefuulira naawe olikinyumya |
lwaki bweweyazika enkandaggo yabandi toyagala kugizaayo |
mbu ebizibu byabadde nabyo bye byamutuusizza okweyimbamu ogwakabugu |
mu ggandaalo eryasooka mwe yazaalira |
mu maka ago g'olaba wewali mulerwa eyazaalisanga nyaffe munnange akyatemya |
muganda wa mukisa y'asula mu kifulukwa kiri mu koona |
muka nguli kaloboozi yenyiye obulamu anti yewadde emmimbiri omulundi omulala |
muleke naye akituukeko nyabuleenyaanya yali ayimbirira banne |
mundeetere ensandaggo eyo ngiruke ngimalirize |
mundeetere ettaala eyo ey'omukono kano ka munakutadooba kazikidde |
mundeetere ku ggobe lyange eryo nteekeko mu nva zino |
munnange ezo ente zeerunda zokka tezirina mulaalo |
munnange omwana yatufaako nga yakakuba embaga |
munnange waliwo eyatwokeledde tetwasigazza kantu |
munno musanze abulidde mu ntwala oba ayolekedde wa |
munywanyi bwonsenera kutubisi nvubirize ku nkalamata |
mutwalire eno emmumbwa agira anywako nga bwe nnoonya eddagala eddala |
mwana gwe lekeraawo akasungiyira ako olabye bwokubye munno olubale |
mwanguwe munone omusawo atujanjabire kweno ente tulabe oba tugitaasa |
mwenno musaaga wano edda twanywanga gaabidiba enkuba teyabaanga ya mwero nga kati |
mwenno mwegendereze obwedda mpulira ebikwakwaya mu ssanja taba omubi |
naye bannange eno entuumu y'engoye yonna mugindekedde bwomu munnangaki |
naye mwana gwe oli mimwattoloba bulala ebyo ani abikubuuzizza |
ngonosimba lumonde akubalire osooka kukabaza bulime |
nkusaba oddemu okubala ensimbi ezo totwala ezitawera n'onekwasa |
nze bwemba mmiringuza ettooke lyange seetaagira ddala antawaanya banninde mmalirize |
nze ndowooza waliwo amulimirira gwate lwaki buli mulimu agugobwako |
nze nnagaana okukolera ebitole by'emmere nkola byange |
oba ente ya munywanyi yabadde ki ekibeere kyonna ndabye kizimbagatanye |
obunyonyi obwo bwe businga okulya omuwemba |
obutiko bwange obwo bukaze mubwanuleyo |
obwesige bwange bwonna bubadde mu baze naye anjiye ku ssaawa envannyuma |
obwo obutungulu bwosazesaze bunaamala okuteeka mu muceere n'enva |
okubikka ebiggya kwa nkya ssaagala mwebuzebuze |
okumanya omukazi oyo mukodo teyampaddeyo wadde olwendo lwamazzi nyweko |
okuva omwana oyo lwewamukwatira ku kaggo yakaza okusoma bwino |
olaba ne munnaffe oli annyuka wamma obudde buzibye |
olabye ekifaananyi kyaffe bwe kyanyumye nga bakiwaanze |
olimba naawe ssekkukulu eba emu mu mwaka |
olowooza abo obwedda abali ku ffene banaalya |
olusolobyo olwo lwa ssengaawo luzeeyo oleete lili olwaffe |
olwaleero guweze omwaka mulamba be ddu okuva lwe yagenda |
olwo oluku ogira oluteeka ebbali ndaba lwonna lujjudde obusagisagi |
omukazi omuyombi ate nga lujuuju tawasika |
omukulu abagambye mumutwalire embazzi bamwasize enku |
omulandira gw'ekkokoowe gwasizza enju ya jaajja bulijjo togulaba |
omuliro ogwo gumala toyongera kuseesaamu emmere tesiriira |
omutunzi akugambye nti olugoye ndunone nkya ngmaze okuteekako omudalizo |
omuwansiwansi aba muzibu wa kumatiza |
omwami wange yasuze mungalabi za munnywanyiiwe mulimulaba luli |
omwana abadde abuguutana anayokya banne nnyweza entamu eyo eyokya |
omwana agabatukana ki anaalinnya ku misumaali |
omwana ataalya kumatungulu teyannyumirwa buto |
omwana bwotamuyigiriza kuwa kitiibwa bantu ng'ali awo oba omukotogedde |
ow'olutondotondo ensi agiibeeramu bwa nnamunigina |
owange gwe omubiri gwo gwabaaki bwotosaaba ku bizigo tonyirira |
owange yanguwa olye akatogo kawooma k'okya oyagala kulya kawolu |
owange gwe wali olidde ku nnyama y'envubu |
owange munnoowo owomuddembo nga yalabye okubbibwako ekidduka |
owulira obuluulu bandiba ng'abagole batuuse mwanguwe twambuke |
oyo atalina gweyali ayambye atusuubira atya okumuddukirira |
oyo bwakubulirako mu katale totegana kunoonya tewali atamumanyi |
oyo gw'olaba yeyatutaasa omutemu eyali atulumbye mu matumbi budde |
oyo mwanaawe naye ate amuyita mutoowe |
oyo omusajja buli lwajja wano okwekoppa yegonza naye okumubanja omala kufungiza |
oyo tamanyidde ddala kufumba olaba alemwa kwefumbira asiibye njala |
oyo tayagalira ddala kunaaba yeetaaga kuteekako liiso lyogi |
oyo ye lumonde w'omugole gwasoose okukuza akuweereza olyeko |
oyo yeeyaatuyigiriza okuzaanya ggogolo nga tukyali mu kyalo |
ssebo agenda ono mugenyiwo abadde abuuza wuwo wuuno genda naye |
ssebo nsasira ndi mukazi munaku sirina ajuna akate kaange kandekere |
ssendagala ani yamuyigiriza okuvuga emmotoka |
temulinnya jjambula oyo aliko ebisaanyi |
tewali awa kitiibwa byabugagga byataateganira |
togeza n'omutuma ensimbi zo agenda kuzinywamu nkangaali |
tosuubira kukungula kasooli gw'otaakoola yenna ensiko yamutta |
totegana kwanula ngoye etonnya kuno eva luuyi luli so si eno |
vva mu kuniina omwana muwe ensimbi ze |
vvaawo nnawe teweetuulako situka wekolere akawujjo onywe ku mubisi |
waliwo lwetumusanga nga yenna asaabanye ettaka naye leero anyirira |
waliwo n'abatamanyi nti mwami ndifanaagange ye w'omuluka guno |
wamma eyateze akamasu y'ategaanga emmese bbiri omulundi gumu |
wamma naawe wamanya nga mutabani wange yeewera okunkuba n'osirika |
wamma owoomye ani yakulondedde akagoye ako omunneebaliza |
wamma oyogedde embaliga zitta amaka tuzeewale |
wategedde ebyavudde mu kukebera endagabutonde omwana si wammwe |
wawulidde omusika wa munywanyi wo ekibanja bweyakiruyweddemu enguuli |
Subsets and Splits
No community queries yet
The top public SQL queries from the community will appear here once available.